Genesis 6:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba nti: “Nzija kuzikiriza omuntu gwe natonda, mmusaanyewo ku nsi, ye n'ebisolo, n'ebyewalula, ssaako ebinyonyi eby'omu bbanga; kubanga nnyoleddwa okulaba nga nabikola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba nti, “Ndiggya ku nsi omuntu gwe natonda, ndisaanyaawo omuntu, n’ensolo n’ebinyonyi, kubanga nejjusizza olw’okubitonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'ayogera nti, “Ndisangula omuntu gwe nnatonda, okuva mu nsi; okusookera ku muntu, n'ensolo, n'eky'ewalula n'ekibuuka waggulu; nejjusizza kubanga nabikola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'agamba nti: “Nja kusaanyaawo ku nsi abantu be natonda, nsaanyeewo n'ensolo era n'ebinyonyi, kubanga nejjusizza okulaba nga nabikola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n’ayogera nti Ndisangula omuntu gwe nnatonda, okuva mu nsi; okusookera ku muntu, n'ensolo, n'eky'ewalula n'ekibuuka waggulu; kubanga nejjusizza kubanga nabikola.