Genesis 6:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino kye kifaayo kya Nowa: Nowa yali musajja mutuukirivu nga taliiko musango mu bantu b'omulembe gwe; yatambuliranga mu Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bino bye bifa ku Nuuwa n’ab’omu nju ye: Nuuwa yali muntu mutuukirivu, nga taliiko kya kunenyezebwa mu bantu b’ekiseera kye, n’atambula ne Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gino gy'emirembe gya Nuuwa. Nuuwa yali mutuukirivu, nga talina kabi mu mirembe gye; Nuuwa n'atambulira wamu ne Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino bye bifa ku Noowa: Noowa yali mutuukirivu, nga taliiko ky'anenyezebwa mu mulembe gwe. Obulamu bwe bwonna yabumala wamu ne Katonda. Bano be baana be yazaala:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuno kwe kuzaala kwa Nuuwa. Nuuwa yali mutuukirivu, nga talina kabi mu mirembe gye: Nuuwa n'atambulira wamu ne Katonda.