Genesis 7:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Nowa nti: “Yingira ekyombo ggwe n'ennyumba yo yonna; kubanga nkulabye ng'oli mutuukirivu mu maaso gange mu zzadde lino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba Nuuwa nti, “Yingira mu lyato, ggwe n’abantu bo bonna, kubanga nkulabye ng’oli mutuukirivu mu mulembe guno.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Nuuwa nti, “Yingira ggwe n'ennyumba yo yonna mu lyato, kubanga nkulabye ng'oli mutuukirivu mu maaso gange mu mulembe guno.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Noowa nti: “Yingira mu lyato n'ab'omu nnyumba yo bonna, kubanga ndabye ng'oli mutuukirivu mu maaso gange, mu mulembe guno.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Nuuwa nti Yingira ggwe n'ennyumba yo yonna mu lyato, kubanga nkulabye ng'oli mutuukirivu mu maaso gange mu mirembe gino.