Genesis 7:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwo lwennyini Nowa n'ayingira mu kyombo ne Seemu, Kaamu, ne Yafesi batabani be, ko mukazi we ne bakaabatabani be abasatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo lwennyini Nuuwa ne mukazi ne batabani be, Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi, ne bakazi baabwe bonsatule, ne bayingira mu lyato.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo Nuuwa ne mukazi we, n'abaana baabwe: Seemu, Kaamu ne Yafeesi ne bakazi baabwe, ne bayingira mu lyato.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo lwennyini, Noowa ne mukazi we ne bayingira mu lyato, wamu ne batabani baabwe Seemu, ne Haamu, ne Yafeeti, ne bakazi baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku olwo Nuuwa n'ayingira ne Seemu ne Kaamu ne Yafeesi, abaana ba Nuuwa, ne mukazi wa Nuuwa n’abakazi abasatu ab'abaana be awamu nabo, mu lyato;