Genesis 7:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo na buli nsolo ya ttale mu luse lwayo, na buli nsolo ya waka mu luse lwayo, na buli kyewalula ku ttaka mu luse lwakyo, ebinyonyi byonna buli kimu mu luse lwakyo, ebyo byonna ebibuuka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli nsolo mu ngeri yaayo na buli nte, na buli ekyewalula, era na buli kinyonyi mu ngeri yaakyo na buli nkula ya kinyonyi, nabyo ne biyingira mu lyato.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli kika kya nsolo entono n'ennene, enfuge n'ez'omu nsiko, na buli kika ky'ebibuuka mu bbanga n'eky'ebyewalula ku ttaka, ne biyingira nabo mu lyato.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli kika kya nsolo entono n'ennene, enfuge n'ez'omu ttale, na buli kika ky'ebibuuka mu bbanga n'eky'ebyewalula ku ttaka, ne biyingira nabo mu lyato.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo na buli nsolo mu ngeri yaayo, n'ente zonna mu ngeri yaazo, na buli ekyewalula ku nsi mu ngeri yaakyo, na buli ekibuuka mu ngeri yaakyo, buli nnyonyi eya buli kiwaawaatiro.