Genesis 7:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyayingira, byali ekisajja n'ekikazi okuva mu buli kitonde nga Katonda bwe yali amulagidde. Awo Katonda n'amuggaliramu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Byonna ne biyingira mu lyato, ekisajja n’ekikazi; byayingira nga Katonda bwe yalagira Nuuwa, Mukama n’aggalawo eryato.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebiramu ebyayingira ne Nuuwa byali ekisajja n'ekikazi nga Katonda bwe yamulagira; Mukama n'amuggalira munda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga Katonda bwe yamulagira. Awo Mukama n'amuggalira munda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyayingira ne biyingira ekisajja n'ekikazi mu buli nnyama, nga Katonda bwe yamulagira: Mukama n'amuggalira munda.