Genesis 7:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amazzi ne galinnya, ne geeyongera nnyo obungi ku nsi ekyombo ne kiseeyeeyera ku mazzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amazzi ne gatumbiira ne geeyongera okwala ku nsi, n’eryato ne liseeyeeya kungulu ku mazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amazzi ne geeyongera nnyo ku nsi, ne gabuna wonna, eryato ne liseeyeeya ku ngulu ku mazzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amazzi ne geeyongera nnyo obungi, ne gajjuza wonna, eryato ne liseeyeeya kungulu ku go.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amazzi ne gafuga, ne geeyongera nnyo ku nsi; eryato ne liseeyeeya kungulu ku mazzi.