Genesis 7:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebiramu byonna ne bisaanawo ebitambulira ku nsi: ebinyonyi, ebisolo eby'awaka, n'ebisolo byonna eby'ettale n'ebitonde byonna ebibunye ku nsi, n'abantu bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli kiramu ekyali ku nsi ne kifa: ebinyonyi n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko, n’ebitonde byonna ebyali ku nsi n’abantu bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebiramu byonna ku nsi, omuli ensolo enfuge n'ez'omu nsiko n'ebibuuka mu bbanga, n'abantu bonna, ne bifa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebiramu byonna ku nsi, omuli ensolo enfuge n'ez'omu ttale n'ebibuuka mu bbanga, n'abantu bonna, ne bifa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli nnyama etambula ku nsi n'efa, ekibuuka, n'ente, n'ensolo na buli ekyewalula ku nsi, na buli muntu yenna: