Genesis 7:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli kiramu kyonna ekissiza mu nnyindo, byonna ebyali ku lukalu, byafa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli kintu kyonna ekyali ku lukalu ekissa omukka ne kifa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli kintu ku nsi ekyalimu omukka ogw'obulamu ne kifa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli kintu ku nsi ekissa omukka, ne kifa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
byonna ebyalimu omukka ogw'omwoyo ogw'obulamu mu nnyindo zaabyo, mu byonna ebyali mu lukalu ne bifa.