Genesis 7:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yasaanyawo buli kitonde ku nsi, okuva ku muntu okutuuka ku magana ne ku byewalula n'ebinyonyi eby'omu bbanga; n'abimalirawo ddala ku nsi. Naye Nowa ye yasigala, n'abaali naye mu kyombo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli kiramu kyonna ekyali ku nsi ne kimalibwawo: abantu, n’ensolo, na buli kitonde ekitambula ku nsi, n’ebinyonyi eby’omu bbanga ne bimalibwawo ku nsi. Nuuwa yekka n’abo be yali nabo mu lyato be baasigalawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'asangula buli kiramu kyonna ku nsi: abantu, n'ensolo n'ebyewalula ku ttaka, n'ebibuuka mu bbanga. Nuuwa n'asigalawo yekka, n'abo abaali awamu naye mu lyato.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'azikiriza ebiramu byonna ku nsi: abantu n'ensolo n'ebyewalula ku ttaka, n'ebibuuka mu bbanga. Noowa n'asigalawo yekka, n'abo abaali naye mu lyato.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'asangula buli kintu kiramu ekyali kungulu ku ttaka, omuntu, n'ente, n'ekyewalula, n'ekibuuka waggulu; ne bisangulibwa ku nsi: Nuuwa n'asigalawo yekka, n'abo abaali awamu naye mu lyato.