Genesis 7:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era ne ku binyonyi eby'omu bbanga, musanvu musanvu, ekisajja n'ekikazi okubikuuma nga biramu ku nsi yonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era ne ku binyonyi eby’omu bbanga musanvu musanvu ekisajja n’ekikazi, okukuuma olulyo lwabyo ku nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne ku bibuuka waggulu, twalako musanvu musanvu, ekisajja n'ekikazi; ekika kyabyo kireme okuzikirira okuva ku nsi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne ku bibuuka mu bbanga, twalako musanvu musanvu, ekisajja n'ekikazi, buli kika kyabyo kiryoke kireme kuzikirira ku nsi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ne mu bibuuka waggulu, musanvu musanvu, ekisajja n'ekikazi: ezzadde liryoke libe eddamu ku nsi yonna.