Genesis 7:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga wanaayita ennaku musanvu ndyoke ntonnyese enkuba ku nsi okumala ennaku amakumi ana n'ebiro amakumi ana; nzija kusaanyaawo ku nsi buli kyonna kye nakola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe waliyitawo ennaku musanvu nditonnyesa enkuba ku nsi emisana n’ekiro okumalira ddala ennaku amakumi ana, era ndizikiriza buli kintu ekiramu kye natonda ku nsi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga oluvannyuma lw'ennaku omusanvu nditonnyesa enkuba ku nsi okumala ennaku ana (40), emisana n'ekiro; era ndisangula buli kintu ekiramu kye nnakola okuva ku nsi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga nga wayise ennaku musanvu, nja kutonnyesa enkuba, etonnyere ennaku amakumi ana emisana n'ekiro, ezikirize ku nsi ebiramu byonna bye nakola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga oluvannyuma lw'ennaku omusanvu nze nditonnyesa enkuba ku nsi ennaku amakumi ana emisana n'ekiro; nange ndisangula buli kintu ekiramu kye nnakola okuva mu ttaka.