Genesis 7:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nowa yali wa myaka lukaaga omujjuzi gw'amataba we gwabeererawo ku nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nuuwa yali aweza emyaka lukaaga amataba bwe gajja ku nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nuuwa yalina emyaka lukaaga (600), amataba we gajjira ku nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Noowa yali aweza emyaka lukaaga egy'obukulu, omujjuzo gw'amazzi we gwajjira ku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Nuuwa yali nga yaakamala emyaka lukaaga, amataba ag'amazzi bwe gaabeera ku nsi.