Genesis 8:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Katonda n'ajjukira Nowa na buli kisolo eky'ettale n'ebisolo eby'awaka ebyali naye mu kyombo, Katonda n'aleeta empewo ku nsi amazzi ne gakendeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’ajjukira Nuuwa n’ensolo zonna ez’awaka n’ez’omu nsiko ezaali naye mu lyato, n’asindika empewo ku nsi, amazzi ne gakendeera;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'ajjukira Nuuwa, n'ensolo, na buli kiramu, ekyali awamu naye mu lyato. Katonda n'akunsa empewo ku nsi, amazzi ne gatandika okukendeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'ateerabira Noowa, n'ensolo, na buli kiramu ekyali ne Noowa mu lyato. Katonda n'akunsa embuyaga ku nsi, amazzi ne gatandika okukendeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'ajjukira Nuuwa na buli kiramu na buli nte eyali awamu naye mu lyato: Katonda n'aleeta empewo ziyite ku nsi, amazzi ne gaweebuuka;