Genesis 8:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne likomawo gy'ali akawungeezi, mu kamwa kaalyo nga mulimu akatabi akabisi aka oliva. Nowa bw'atyo n'amanya nti amazzi gakendedde ku nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne likomawo akawungeezi, era laba, nga lirina mu kamwa kaalyo akakoola akabisi ke liggye ku muti omuzeyituuni. Awo Nuuwa n’ategeera nti amazzi gakendedde ku nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ejjiba ne likomawo olw'eggulo nga lirina akakoola akabisi ak'omuzeeyituuni mu kamwa kaalyo. Nuuwa n'alyoka amanya nti amazzi gakendedde ku nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne likomawo olweggulo nga lirina akakoola akabisi ak'omuzayiti mu kamwa kaalyo. Noowa n'amanya nti amazzi gakendedde ku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ejjiba ne likomawo olw'eggulo mw'ali; laba, mu kamwa kaalyo ne muba akalagala akabisi ak'omuzeeyituuni: Nuuwa n'alyoka amanya nti amazzi gaweebuuse okuva ku nsi.