Genesis 8:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso era n'alindirirako ennaku endala musanvu; n'asindika ejjiba, naye siryaddamu kudda gye yali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate n’alinda ennaku endala musanvu, n’asindika ejjuba, naye ku mulundi guno teryadda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'alindako ennaku endala musanvu, n'addamu okutuma ejjiba; ku olwo neritakomawo gy'ali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo n'alinda ennaku endala musanvu, n'addamu okutumayo ejjiba nate. Ku mulundi ogwo ne litakomawo gy'ali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayosaawo ennaku musanvu nate; n'atuma ejjiba; awo oluvannyuma teryakomawo nate gy'ali.