Genesis 8:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe kityo, mu mwaka ogw'olukaaga mu ogumu, mu mwezi ogusooka, ku lunaku olubereberye olw'omwezi, amazzi ne gakalira ku nsi; Nowa n'aggulawo ekisaanikira ku kyombo, n'alaba nga ku nsi wonna wakalu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olw’olubereberye, olw’omwezi ogw’olubereberye nga Nuuwa aweza emyaka lukaaga mu gumu, amazzi gaali gakalidde ku nsi. Awo Nuuwa n’aggyako ekibikka ku lyato n’alaba ng’ensi ekalidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka lukaaga mu gumu (601) ogwa Nuuwa, ku lunaku olwolubereberye, olw'omwezi ogwolubereberye, amazzi ne gakalira ku nsi. Nuuwa n'aggyako ekisaanikira ky'eryato, n'atunula, n'alaba ng'amazzi gakalidde ku nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Noowa bwe yali nga wa myaka lukaaga mu gumu, ku lunaku olusooka mu mwezi ogw'olubereberye, amazzi gaali nga gakalidde ku nsi. Noowa n'aggyako ekisaanikira ky'eryato, n'atunula ku buli ludda, n'alaba nga kungulu ku nsi kukalidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu mwaka ogw'olukaaga mu gumu, mu mwezi ogw'olubereberye, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi, amazzi ne gakalira ku nsi; Nuuwa n'aggyako ekyasaanikira eryato, n'atunuulira, laba, kungulu ku nsi nga kukalidde.