Genesis 8:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebiramu byonna ebiri naawe ku buli kitonde: ebinyonyi, ebisolo, na buli kyewalula ku ttaka, bifulumye wamu naawe, bibune ku nsi bizaale, byale ku nsi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Fulumya buli kiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo, na buli kiramu ekitambula ku ttaka, biryoke bizaale byale ku nsi, byeyongerenga obungi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Fulumya ebiramu byonna ebiri naawe mu lyato mu ngeri yabyo: ebibuuka waggulu, ensolo enfuge n'ez'omu nsiko, n'eby'ewalula ku nsi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Fuluma wamu n'ebiramu byonna ebya buli ngeri ebiri naawe, ebibuuka mu bbanga, n'ensolo, ne byonna ebyewalula ku nsi, bizaalenga byale, bibune ku nsi yonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ofulumye wamu naawe buli kiramu ekiri awamu naawe mu buli nnyama yonna, ekibuuka n'ente na buli ekyewalula ku nsi; bizaalenga bibune mu nsi, byalenga byeyongerenga ku nsi.