Genesis 8:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensulo ez'eddubi n'ebiyiriro eby'eggulu ne biggalira, n'enkuba n'eziyizibwa okuva mu ggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ensulo eza wansi w’ensi n’ebituli eby’eggulu ne biggalibwa, n’enkuba eva mu ggulu n’eziyizibwa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensulo ez'ennyanja n'ebituli eby'omu ggulu ne biggalirwa. Enkuba n'erekera awo okutonnya,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensulo ez'ennyanja, n'ebituli eby'eggulu, ne biggalira. Enkuba n'erekera awo okutonnya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era n'ensulo ez'ennyanja n'ebituli eby'omu ggulu ne biggalirwa, enkuba ey'omu ggulu n'eziyizibwa;