Genesis 8:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nowa n'azimbira Omukama omwaliiro, n'addira ku buli kisolo kirongoofu, ne ku buli kinyonyi kirongoofu, n'atambira ekitambiro ekyokye ku mwaliiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Nuuwa n’azimbira Mukama ekyoto, n’addira ku zimu ku nsolo ennongoofu ne ku binyonyi ebirongoofu n’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nuuwa n'azimbira Mukama ekyoto; n'alonda ku nsolo zonna ennongoofu, ne ku bibuuka byonna ebirongoofu, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Noowa n'azimbira Mukama alutaari, n'alondayo emu emu ku nsolo ne ku nnyonyi ennongoofu, n'azookya ku alutaari nga za kitambiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nuuwa n'azimbira Mukama ekyoto; n'alonda ku nsolo zonna ennongoofu, ne ku bibuuka byonna ebirongoofu, n'aweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto.