Genesis 8:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'awunyirwa akawoowo akasanyusa. Omukama n'agamba mu mutima gwe nti: “Sikyaddayo n'akatono kuvumirira ttaka olw'okubeera omuntu, kubanga endowooza y'omutima gw'omuntu okuva mu buvubuka bwe yeewunzikira ku kibi. Awo nno sikyaddamu kuzikiriza buli kiramu kyonna, nga bwe nkoze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’awulira akawoowo akalungi akamusanyusa, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Sikyaddayo kukolimira nsi olw’omuntu, newaakubadde ng’endowooza y’omutima gwe mbi okuva mu buto bwe. Sikyaddayo na kuzikiriza bitonde byonna ebiramu, nga bwe nkoze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'asanyuka olw'evvumbe eddungi; n'ayogera mu mutima gwe nti, “Sikyaddamu nate kukolimira nsi olw'ebikolwa by'omuntu; kubanga ebirowoozo by'omutima gwe bibi okuviira ddala mu buto bwe. Era sikyazikiriza nate buli kiramu nga bwe nkoze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akawoowo ak'ekitambiro ne kasanyusa Mukama, Mukama n'agamba munda ye nti: “Sikyaddamu kukolimira nsi olw'ebyo omuntu by'akola, kubanga ebirowoozo by'omuntu bibi okuviira ddala mu buto bwe. Sikyaddamu kuzikiriza biramu byonna nga bwe nkoze kaakano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'awulira evvumbe eddungi; Mukama n'ayogera mu mutima gwe nti Ensi sikyagikolimira nate oluvannyuma ku lw'omuntu; kubanga okulowooza okw'omu mutima gw'omuntu kubi okuva mu buto bwe; so sikyakuba nate oluvannyuma buli kiramu, nga bwe nkoze.