Genesis 8:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ensi ng'ekyaliwo, okusiga n'okukungula, empewo n'ebbugumu, ekyeya n'obutiti, emisana n'ekiro tebiibulirengawo ddala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ensi ng’ekyaliwo, okusiga n’amakungula, obunnyogovu n’ebbugumu, ebiseera eby’omusana n’eby’obutiti, emisana n’ekiro, tebiggwengawo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensi ng'ekyaliwo, okusiga n'okukungula, empewo n'ebbugumu, ekyeya ne ttoggo, emisana n'ekiro tebiggwengawo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi ng'ekyaliwo, wanaabeerangawo okusiga n'okukungula, obunnyogovu n'ebbugumu, ekyeya n'obutiti, era n'emisana n'ekiro.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensi ng'ekyaliwo, okusiga n'okukungula, era empewo n'ebbugumu, era ekyeya ne ttoggo, era emisana n'ekiro tebiggwengawo.