Genesis 8:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ejjiba teryazuula kifo we lisobola kugwa, ne likomawo gy'ali mu kyombo kubanga amazzi gaali gakyali wonna ku nsi. N'alikunuukiriza, n'alikwata, n'aliyingiza gy'ali mu kyombo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye ejjuba ne litalaba we lissa kigere kyalyo, ne likomawo gy’ali mu lyato, kubanga amazzi gaali gakyali ku nsi yonna. N’agolola omukono gwe n’alikwata n’aliyingiza mu lyato.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye ejjiba teryalaba kifo wa kuwummuza ekigere kyalyo, ne likomawo gy'ali mu lyato, kubanga amazzi gaali gakyali mangi ku nsi yonna. N'afulumya omukono gwe, n'alikwata n'aliyingiza mu lyato.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kubanga amazzi gaali gakyajjudde wonna ku nsi, lyabulwa awakalu we lirinnya, ne likomawo ku lyato. Noowa n'afulumya omukono gwe n'alikwata n'aliyingiza mu lyato.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ejjiba teryalaba bbanga wa kuwummuza ekigere kyalyo, ne likomawo gy'ali mu lyato, kubanga amazzi gaali kungulu ku nsi yonna: n'afulumya omukono gwe, n'alikwata n'aliyingiza mw'ali mu lyato.