Genesis 9:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'awa Nowa ne batabani be omukisa, n'ayogera gye bali nti: “Mwale, mweyongere, mujjuze ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Katonda n’awa Nuuwa ne batabani be omukisa n’agamba nti, “Muzaale mwale mweyongerenga nnyo mujjuze ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'awa Nuuwa n'abaana be omukisa, n'abagamba nti, “Mwalenga mweyongerenga, mujjuze ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'awa Noowa n'abaana be omukisa, n'abagamba nti: “Muzaale nnyo, mweyongere obungi, mujjuze ensi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'awa Nuuwa n'abaana be omukisa, n'abagamba nti Mwalenga mweyongerenga, mujjule ensi.