Genesis 9:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
na buli kiramu kyonna ekiri nammwe: ebinyonyi, ebisolo by'awaka n'ebisolo byonna eby'oku nsi. Na buli kiramu kyonna ekifulumye mu kyombo, ne buli kiramu kyonna eky'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era na buli kitonde ekiramu ekiri naawe: ebinyonyi, n’ensolo ez’awaka n’ez’omu nsiko zonna, ne byonna bye muvudde nabyo mu lyato, ne buli kitonde kyonna ku nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era na buli kiramu ekiri awamu nammwe: ennyonyi ez'omubbanga, ensolo enfuge n'ez'omu nsiko, ne byonna ebivudde mu lyato.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
na buli kitonde kyonna ekiramu, ensolo n'ebibuuka mu bbanga, era na buli kiramu kyonna ekivudde nammwe mu lyato.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era na buli kiramu ekiri awamu nammwe, ennyonyi, ente, na buli nsolo ey'ensi awamu nammwe; byonna ebiva mu lyato, buli nsolo ey'ensi.