Genesis 9:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kukola endagaano nammwe; ekiramu kyonna tekigenda kuddayo kusalwako mazzi ga mujjuzi, era teriddayo kubaawo mujjuzi gulisaanyaawo nsi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nkola endagaano yange eno nammwe: tewaabengawo mataba gazikiriza bulamu bwonna, tewakyaddayo kubaawo mataba gasaanyaawo nsi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange nkola nammwe endagaano; sikyaddayo kuzikiriza biramu byonna na mataba; amataba tegakyaddamu kuzikiriza nsi nate mulundi gwa kubiri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkola nammwe endagaano nti sikyaddamu kuzikiriza biramu byonna na mujjuzo gwa mazzi. Omujjuzo gw'amazzi teguliddamu kuzikiriza nsi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange nnaanywezanga endagaano yange nammwe; so ebirina omubiri byonna tebikyazikirizibwa nate mulundi gwa kubiri n'amazzi ag'amataba; so tewakyabaawo mataba nate mulundi gwa kubiri okuzikiriza ensi.