Genesis 9:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era Katonda n'agamba nti: “Kano ke kabonero k'endagaano ey'olubeerera gye nkoze nammwe n'ebitonde byonna ebiri nammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’agamba nti, “Kano ke kabonero ke nteeka wakati wange nammwe, na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe, era n’ab’emirembe egiriddawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda era n'agamba nti, “Kano ke kabonero ak'endagaano ey'emirembe n'emirembe, gye nkoze nammwe era na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda era n'agamba nti: “Kano ke kabonero ak'endagaano ey'emirembe n'emirembe, gye nkoze nammwe era na buli kitonde ekiramu ekiri nammwe:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'ayogera nti Kano ke kabonero ak'endagaano gye ndagaana nze nammwe na buli kitonde kiramu ekiri nammwe, okutuusa emirembe egitaliggwaawo: