Genesis 9:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nnajjukiranga endagaano yange nammwe na buli kiramu kyonna; tewalibeerawo mazzi ga mujjuzi mulundi mulala okuzikiriza buli kiramu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne nzijukira endagaano yange nammwe na buli kiramu; era amazzi tegakyaddayo kuzikiriza biramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
najjukiranga endagaano gye nkoze nammwe na buli kiramu kyonna ekirina omubiri; amataba tegaliddamu kuzikiriza biramu byonna ku nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nnajjukiranga endagaano gye nkoze nammwe, era na buli kitonde ekiramu, nti omujjuzo gw'amazzi teguliddamu kuzikiriza biramu byonna ku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nange najjukiranga endagaano yange, gye ndagaanye nze nammwe na buli kitonde kiramu ekirina omubiri kyonna; n'amazzi tegaafuukenga nate mataba okuzikiriza omubiri gwonna.