Genesis 9:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'agamba Nowa nti: “Kano ke kabonero k'endagaano gye nkoze wakati wange na buli kiramu kyonna ku nsi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’agamba Nuuwa nti, “Kano ke kabonero ak’endagaano gye ntaddewo wakati wange ne buli kiramu ekiri ku nsi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'agamba Nuuwa nti, “Ako ke kabonero ak'endagaano gye nkoze n'ebiramu byonna ebiri ku nsi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ako ke kabonero ak'endagaano gye nkoze n'ebiramu byonna ebiri ku nsi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'agamba Nuuwa nti Ako ke kabonero ak'endagaano gye nnywezezza nze na buli ekirina omubiri ekiri mu nsi.