Genesis 9:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Nowa abaava naye mu kyombo be bano: Seemu, Kaamu ne Yafesi. Kaamu ono ye kitaawe wa Kanaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani ba Nuuwa abaava mu lyato ye Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi. Kaamu ye yali kitaawe wa Kanani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Nuuwa abaava mu lyato be bano: Seemu, Kaamu, ne Yafeesi. Kaamu ye yazaala Kanani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaana ba Noowa abaafuluma okuva mu lyato, ye Seemu ne Haamu ne Yafeeti. Haamu ye kitaawe wa Kanaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana ba Nuuwa, abaava mu lyato, Seemu, ne Kaamu, ne Yafeesi: ne Kaamu ye yazaala Kanani.