Genesis 9:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasatu abo be batabani ba Nowa, mu abo mwe mwava abantu abali ku nsi yonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bonna abasatu be baali batabani ba Nuuwa; era okuva mu bano ensi yonna yajjula abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo bonsatule Nuuwa be yazaala; n'abaana baabwe be baazaala, be baabuna ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaana ba Noowa abo abasatu, be baasibukamu abantu bonna ku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo bonsatule Nuuwa be yazaala: n'abazzukulu b'abo be baabuna ensi zonna.