Genesis 9:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mujja kukuba entiisa mukankanye ebisolo byonna eby'oku nsi n'ebinyonyi byonna eby'omu bbanga, byonna ebitambula ku lukalu n'ebyennyanja byonna mu nnyanja; byonna biweereddwa mu mikono gyammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensolo zonna ez’omu nsiko, n’ebinyonyi eby’omu bbanga, na buli ekitambula ku nsi, buli ekiri mu nnyanja, byonna binaakutyanga, mbikuwadde mu mikono gyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensolo zonna n'ebibuuka mu bbanga na buli kiramu kyonna ekiri mu nnyanja, binaabatyanga. Binaabanga mu buyinza bwammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensolo zonna n'ebibuuka mu bbanga na buli kiramu kyonna ekiri mu nnyanja, binaabatyanga. Biteekeddwa mu buyinza bwammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekitiibwa kyammwe n'entiisa yammwe binaabanga ku buli nsolo ey'ensi, ne ku buli nnyonyi eya waggulu; era ne byonna ebijjuza olukalu, n'ebyennyanja byonna, biweereddwayo mu mukono gwammwe.