Genesis 9:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nowa evviini bwe yamwamukako, n'amanya mutabani we asingayo obuto kye yali amukoze,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwenge bwe gwamwamukako, Nuuwa n’azuukuka n’ategeera mutabani we omuto ky’amukoze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nuuwa omwenge bwe gwamwamukako, n'amanya omwana we omuto kye yamukola,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Noowa bwe yaddamu okutegeera, ng'omwenge gumuvuddeko, n'amanya mutabani we asinga obuto kye yamukola,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nuuwa n'atamiirukuka mu mwenge gwe, n'amanya omwana we omuto bwe yamukola.