Genesis 9:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebbanga lyonna lye yamala ku nsi ne giba emyaka lwenda mu ataano, n'afa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emyaka gyonna Nuuwa, gye yamala ku nsi ne giba lwenda mu amakumi ataano, n’afa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nuuwa n'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu ataano (950).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'afa ng'awezezza emyaka lwenda mu ataano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ennaku zonna eza Nuuwa zaali myaka lwenda mu ataano: n'afa.