Genesis 9:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli ekitambula ekiramu y'eriba emmere yammwe, kye kimu ne ku bimera, byonna mbibawadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli kintu ekiramu, ekitambula onookiryanga. Nga bwe nakuwa ebimera, kaakano nkuwa buli kintu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga bwe n'abawa ebimera okuba emmere, era mbawadde na buli kiramu ekitambula okuba emmere gye muli; buli kiramu ekitambula kinaabanga kya kulya gye muli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Byonna munaabiryanga. Mbibawadde, nga bwe n'abawa ebimera byonna, bibeerenga emmere yammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli kiramu ekitambula kinaabanga kya kulya gye muli; ng'omuddo ogumera byonna mbibawadde.