Genesis 9:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kusabanga munyinnyonnyole ensonga olw'omusaayi gwammwe. Nzija kukisabanga ne ku buli nsolo. Buli muntu nzija kumubanjanga obulamu bwa muntu munne.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndivunaana ayiwa omusaayi gwammwe ne nvunaana n’omuntu olw’omusaayi gw’ensolo ne muvunaana n’olw’omusaayi gwa muntu munne.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Siiremenga kuzikiriza muntu oba ensolo esaanyawo obulamu bw'omuntu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnaabonerezanga buli asaanyaawo obulamu bw'omuntu. Ekibonerezo kye nnaawanga ensolo esse omuntu, kya kuttibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omusaayi gwammwe, ogw'obulamu bwammwe, siiremenga kuguvunaana; eri buli nsolo nnaaguvunaananga: n'eri omuntu, eri buli muganda w'omuntu, n'avunaananga obulamu bw'omuntu.