Habakkuk 1:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bayitawo luwunguko nga mpewo ne beeyongerayo. Bazzi ba misango, amaanyi gaabwe ye lubaale waabwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bayita nga bakunta ng’embuyaga; abantu bano omusango be gwasinga, eryanyi lyabwe ye katonda waabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bayita nga bawulukuka ng'embuyaga era ne bagenda, abasajja abasingiddwa omusango, amaanyi gaabwe ye katonda waabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bafuumuuka ng'embuyaga ne babulawo! Bantu boonoonyi, amaanyi gaabwe ye Lubaale waabwe!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo aliyita ng'awulukuka ng'embuyaga, era alisukkirira n'azza omusango: ye amaanyi ge gabeera katonda we.