Habakkuk 1:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kazzi, ayi Mukama, toli wa mirembe na mirembe, ayi Katonda wange, Omutuukirivu, atafa? Ayi Mukama, wabateekawo balamule; ayi Lwazi, wabassaawo babonereze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama toli wa mirembe na mirembe, ggwe Mukama Katonda wange, si ggwe Mutukuvu wange? Tetulifa. Ayi Mukama ggwe wabateekawo n’obawa amaanyi batusalire emisango. Era ggwe Olwazi, wabateekawo kubonereza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe toli wa mirembe n'emirembe, ayi Mukama Katonda wange, Omutukuvu wange? Tetulifa. Ayi Mukama, wamuteekerawo musango, naawe ayi Olwazi wamunywereza kubuulirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama Katonda wange, eyabeerawo okuva edda n'edda, oli mutuukirivu, era wa mirembe na mirembe. Ayi Mukama Katonda wange, walonda Abakaludaaya n'obafuula ba maanyi, balyoke batubonereze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe toli wa mirembe n'emirembe, ai Mukama Katonda wange, Omutukuvu wange? tetulifa. Ai Mukama, wamuteekerawo musango; naawe, ai Olwazi, wamunywereza kubuulirira.