Habakkuk 1:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaaso go matukuvu nnyo okugatunuza ku kibi, togumiikiriza kikyamu. Lwaki ate otunuulira ab'enkwe? Lwaki osirika ng'ababi bamira bugobo ababasinga obutuukirivu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amaaso go gajjudde obulongoofu tegatunula ku kibi, so toyinza kugumiikiriza bukyamu. Kale lwaki ggwe ogumiikiriza ab’enkwe, n’osirika ng’omubi amalirawo ddala omuntu amusinga obutuukirivu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe alina amaaso amalongoofu ennyo agatayinza kutunuulira bubi, so toyinza kulaba bukyamu, lwaki ggwe okutunuulira abo abakuusakuusa, n'osirika omubi ng'amira omuntu amusinga obutuukirivu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oli mutuukirivu nnyo atasaanye kutunuulira bibi, era atayinza kugumiikiriza bakola bikyamu. Kale lwaki osirika ng'ababi bamalawo abo ababasinga okuba abatuukirivu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe alina amaaso agayinze obulongoofu obutatunuulira bubi, so toyinza kulaba bukyamu, lwaki ggwe okutunuulira abo abakuusakuusa, n'osirika omubi bw'aliira ddala omuntu amusinga obutuukirivu;