Habakkuk 1:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu wabakola ng'ebyennyanja mu nnyanja, ng'ebyewalula ebitalina abikulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga abantu obafudde ng’ebyennyanja eby’omu nnyanja, ng’ebitonde eby’omu nnyanja ebitaliiko abifuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abantu obafuula ng'ebyennyanja ebiri mu nnyanja, era ng'ebintu ebyewalula ebitaliiko abifuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu obayisa nga byannyanja oba ng'ebyewalula, ebitalina abirabirira?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ofuula abantu ng'ebyennyanja era ng'ebintu ebyewalula ebitaliiko abifuga?