Habakkuk 1:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna abasikayo n'eddobo, abakwasa mu kiragala kye, n'abakuŋŋaanya mu katimba ke; awo n'asanyuka n'asagambiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omulabe omubi abakwata bonna ng’eddobo, oluusi n’abawalula mu katimba ke, n’abakuŋŋaanya mu kiragala kye n’alyoka asanyuka n’ajaguza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakwata bonna n'eddobo, abatega mu muya gwe, era abakuŋŋaanyiza mu kiragala kye; kyava asanyuka n'ajaguza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakaludaaya abo bakwata abantu, nga bakozesa obutimba n'amalobo, ng'abakwata ebyennyanja. Babawalulira mu butimba, ne basanyuka nga bajaguza olw'abo be bakwasizza!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakwata bonna n'eddobo, abatega mu muya gwe, era abakuŋŋaanyiza mu kiragala kye: kyava asanyuka n'ajaguza.