Habakkuk 1:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo atambirira ekiragala kye, n'anyookeza akatimba ke obubaani, kubanga mu byo mw'aggya obulamu obw'ekigagga, n'ekyokulya kye ekyassava.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyava awaayo ssaddaaka eri akatimba ke n’ayotereza n’ekiragala kye obubaane; akatimba ke kamuwa obulamu obw’okwejalabya, n’alya emmere ey’ekigagga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyava awaayo ssaddaaka eri omuya gwe, n'ayotereza ekiragala kye obubaane; kubanga olw'ebyo omugabo gwe kyeguva guba ogwa ssava, emmere ye ngagga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyebava bawaayo ebitambiro eri obutimba bwabwe obwo, ne babwotereza obubaane, kubanga bubawa omugabo ogusinga obusava, ne balya bye beeroboza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyava awaayo ssaddaaka eri omuya gwe, n'ayotereza ekiragala kye obubaane; kubanga olw'ebyo omugabo gwe kyeguva guba ogwa ssava, emmere ye n'eba nnyingi.