Habakkuk 1:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyanaavanga afukumula akatimba ke bulijjo, n'azikiriza amawanga awatali kusaasira ennaku zonna?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale, bwe batyo bwe banaalekebwa okutikkula obutimba bwabwe, n’okusaanyaawo amawanga awatali kusaasira?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale alibeera buli kiseera nga afukumula omuya gwe, era awatali kusaasira n'atta amawanga emirembe gyonna?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Banaakozesanga ebissi byabwe bazikirize amawanga olutata awatali kusaasira?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kyaliva afuka omuya gwe, n'atalekaayo kutta amawanga olutata?