Habakkuk 1:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, nnaatuusa wa okuwanjaga onnyambe, naye ggwe nga towulira, oba okuleekaana gy'oli nti: “Obukambwe!” naye ggwe nga tolokola?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, ndituusa ddi okukukaabirira naye nga tompuliriza? Lwaki nkukaabirira nti, “Ebikolwa eby’obukambwe bimpitiriddeko,” naye n’otonnyamba?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, ndituusa wa okukaaba naawe nga tokkiriza kuwulira? Nkukaabirira nti, “obukambwe!” Naye ggwe tokkiriza kutulokola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, ndituusa wa okukuyita nga towulira? Nkukaabirira nti: “Tulokole otuwonye obukambwe bw'abantu!” Wabula ggwe n'osirika!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama, ndituusa wa okukaaba, naawe nga tokkiriza kuwulira? Nkukaabirira olw'eby'ekyejo so tokkiriza kulokola.