Habakkuk 1:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki ondeka okulaba ebikyamu, lwaki ogumiikiriza obugwenyufu? Okwonoona n'obukambwe bye ndaba, Empaka ze ziriwo, n'ennyombo zisituse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki ondaga obutali bwenkanya era lwaki ogumiikiriza obukyamu? Kubanga okuzikiriza n’ebikolwa eby’obukambwe biri mu maaso gange, empaka n’ennyombo byeyongede.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lwaki ondeka okulaba ebikyamu, era n'okutunulira emitawaana? Okuzikiriza n'obukambwe biri mu maaso gange; era waliwo empaka, n'okuyomba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ondekera ki okulaba ebitali bya bwenkanya, n'otunula obutunuzi ng'ebikyamu bikolebwa? Kubanga obunyazi n'obukambwe bye ndaba buli we ntunula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onjoleseza ki obutali butuukirivu n'otunuulira obukyamu? kubanga okunyaga n'ekyejo biri mu maaso gange: era waliwo empaka, n'okuyomba kubaawo.