Habakkuk 1:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Etteeka kyeriva liggwa amaanyi, n'obwenkanya tebuvaayo. Anti ababi babuutikidde abatuukirivu, obwenkanya bwe butyo ne butyoboolwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amateeka kyegavudde gatagonderwa era n’obwenkanya ne butakolebwa. Ababi be basinga abatuukirivu obungi era babeebunguludde, n’obwenkanya ne bulinnyirirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amateeka kyegavudde gaddirira, ne wataba kugoba mazima n'akatono; kubanga omubi azingizza omutuukirivu; kwe kulaba nga n'amazima ganyooleddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amateeka kyegavudde gaddirira, ne wataba kugoba nsonga, kubanga ababi be bakajjala kati ku batuukirivu! Kwe kulaba n'amazima nga ddala gasuuliddwa!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amateeka kye gavudde gaddirira, so n'omusango tegufulumanga n'akatono; kubanga omubi azingizza omutuukirivu omusango kyeguva gufuluma nga gunyooleddwa.