Habakkuk 1:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mutunuulire amawanga mulabe, mwewuunye, muwuniikirire. Kubanga nkola ekikolwa mu budde bwammwe kye mutandikkirizza nga kibanyumiziddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mutunuulire amawanga, mwetegereze. Mwewuunyize ddala nnyo. Kubanga ŋŋenda kukola omulimu mu nnaku zammwe gwe mutalikkiriza newaakubadde nga mugubuuliddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mutunule mu mawanga, mulabe; mwewuunye era mutye, kubanga nkolera omulimu mu nnaku zammwe, gwe mutalikkiriza newakubadde nga mugubuuliddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba abantu be nti: “Mutunuleeko mu mawanga mulabe, muneewuunya ne musamaalirira! Kubanga mu mirembe gyammwe gino nja kubaako kye nkolawo, kye mutayinza kukkiriza singa bababuulidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mulabe mu mawanga, musseeyo omwoyo, mwewuunye nnyo nnyini: kubanga nkolera omulimu mu nnaku zammwe, gwe mutalikkiriza newakubadde nga mugubuuliddwa.