Habakkuk 1:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kuba ŋŋenda okusitula Abakaludeya, eggwanga eribuubuuka, ekkambwe, eriyita wonna ku nsi, litwale ebisulo ebitali byalyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga laba, nkuyimusiza Abakaludaaya, eggwanga eryo eririna ettima era ekkambwe, ababunye ensi eno n’eri nga bawamba amawanga agatali gaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga, laba, ngolokosa Abakaludaaya, eggwanga eryo ekkakali eryanguyiriza; abasimba ennyiriri ne batambula okubunya ensi bwe yenkana obugazi, nga banyaga ebintu by'abalala n'okutwala ennyumba ezitali zaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale mulabe, nkulaakulanya Abakaludaaya, abantu abakambwe abo abatatuula kukkalira: abagenda batalaaga ensi okunyaga ebintu by'abalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, laba, ngolokosa Abakaludaaya, eggwanga eryo ekkakali eryanguyiriza; abasimba ennyiriri okutambula okubunya ensi bwe yenkana obugazi, okulya ennyumba ezitali zaabwe.