Habakkuk 1:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lya ntiisa, likuba encukwe, be beewa etteeka n'obuyinza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ba ntiisa, batiibwa, be beetekera amateeka gaabwe era be bagassa mu nkola, nga balwanirira ekitiibwa kyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ba ntiisa, bazibu, amazima gaabwe n'ekitiibwa biva mu bo bennyini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baakitiibwa ba ntiisa, beemala era beeramula!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ba ntiisa, ba kitiibwa: omusango gwabwe n'obukulu bwabwe biva eri bo bennyini.