Habakkuk 1:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna bajjirira bukambwe; amaaso gaabwe gali ng'empewo ey'ebuvanjuba, bakuŋŋaanya abasibe ng'omusenyu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bajja n’eryanyi bonna, ebibinja byabwe birumba ng’embuyaga ey’omu ddungu; ne balyoka bayoola abawambe abangi ng’omusenyu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bonna bajja lwa bukambwe; entiisa yaabwe ebakulemberamu; era bakuŋŋaanya abasibe ng'omusenyu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna kye bajjirira, kukola bya bukambwe. We baba basembedde buli muntu ajjula entiisa! Abanyage be bakuŋŋaanya, bayitirira obungi ng'obuweke bw'omusenyu!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bajja lwa kyejo bonna; bavulumula amaaso gaabwe ng'embuyaga ez'ebuvanjuba; era bakuŋŋaanya abasibe ng'omusenyu.